Trusted News Portal

Ab’e Lubigi Balaajana Lwa NEMA Kubamenyera Mayumba-Agasoba mu 150 Gasigadde ku Ttaka!

0

BYA TONNY EVANS NGABO

Olunaku lwa Mmande nga May 27, 2024, ekitongole ekivunaanyizibwa ku buttoned bw’ensi ekya NEMA wamu n’ekitongole kya KCCA baalumaze mu Lubigi nga bamenya amayumba wamu n’okugobagana n’abantu be bagamba nti beesenza mu ntobazi mu kitundu kino.

Ennyumba ezisoba mu 150 ze zimenyeddwa ne zisigala ku ttaka mu kaweefube NEMA g’eriko okulaba  ng’obutonde bw’ensi bukuumibwa butiribiri.

Kiwetiiye kya NEMA nga kikuumibwa abasirikale nga kigenda okutandika okumenya amayumba g’abantu.

Wabula abamu ku batuuze b’e Gganda abamenyeddwa ennyumba zaabwe baategeezezza Kyaggwe TV wakati mu kulaga ennaku n’okwemulugunya ng’aba NEMA bwe babaguddeko ekiyiifuyiifu ne batabawa budde kweteekateeka okusobola okwesengula mu mirembe.

Richard Kiriggwajjo omu ku bakoseddwa mu mbeera eno alaze okunyolwa ng’agamba nti NEMA nga tekwatiddwa wadde ensonyi ennyumba z’abatuuze ezikoonye n’ezireka ku ttaka kyokka ffakitole esangibwa mu kitundu kye kimu yo n’etakwatibwako.

“Tulikomya ddi okubeera n’abaana n’ebyana. FFe ababadde baleeta otulo mu kitundu kino batumenye tusigadde ku ttaka, batulese tugende nga tubungeeta nga munyeera, bbo bannaffe abeesobola babalese tebakwatiddwako. Ekyo kikyamu, ffenna tuli Bannayuganda tulina kukwatibwa ky’enkanyi,” Kiriggwajjo bwe yategeezezza.

Mu bamenyeddwa kubaddeko n’ekkanisa y’Abalokole eya YIMUSIBWA MINISTRIES INTERNATIONAL nga n’eno terutonze era Abalokole basigadde bakolimira abo ababakozeeko bbo lye bayise effujjo n’okubateeka mu ssaala Katonda yennyini y’aba abeesasulira.

Omubaka Betty Ethel Naluyima ng’ayogera.

Bbo abakulembeze mu disitulikiti y’e Wakiso okubadde omubaka omukyala akiikirira Wakiso mu palamenti, Betty Ethel Naluyima ne Wakayima Musoke owa munisipaali y’e Nansana bagamba nti ekitongole kya NEMA kiyittirizza okusosolamu abaana n’ebyana nti abantu baabulijjo abanoonya akawogo be besibyeko ate abanene ne babaleka nga bayiinayiina.

Ababaka ba palamenti bano era batadde NEMA ku nninga ne bagisaba ne ffakitole ezaazimbibwa mu ntobazzi nazo zimenyebwe bwe kiba ng’omulamwa gwe baliko gwakutaasa ntobazzi sso tebeenoonyeza byabwe.

Wabula atte ye Rebecca Ssaabaganzi nga y’akulira  ekitongole ky’obutonde bw’ensi n’obugagga  obw’ensibo mu disitulikiti y’e Wakiso  yatutegeezezza nti bbo ng’abakulembeze ku disitulikiti tebalina buyinza bumala kwenganga bantu beesenza mu ntobazzi ng’ate bakama baabwe okuva mu minisitule y’obutonde bw’ensi n’aba NEMA balwawo okuvaayo  ku nsonga eno nga kino kye kiretedde n’abantu okufuna ebyapa mu ntobazzi.

Bino we bibeereddewo nga Uganda eyita mu kaseera kazibu nnyo akava ku kukyukakyuka kw’embeera y’obudde omuli omusana oba ekyeya ekitadde ebitundu by’eggwanga ebisinga obungi ku nninga ng’omusana gwaka okukirako akatono okuzuukusa abaafa nga n’ebbugumu lingi ddala sso ng’ate bbo abawangaalira mu bitundu ebyetoolodde ennyanja Nalubaale nabo ge bakaaba ge bakomba olw’amazzi mu nnyanja okubooga ne gagenda nga galya ebitundu eby’olukalu mwe babadde babeera n’okukolera emirimu ekikaluubirizza ennyo obulamu bw’abawangaalira mu bitundu ebyo.

Abakugu mu by’obutonde bw’ensi bagamba nti kino kivudde ku buttoned bw’ensi obusaanyiziddwawo omuli ebibira n’emiti ebitemeddwa ng’abantu bookya amanda, okusala embaawo, okutema enku ezifumbisibwa n’ebirala.

 

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/abe-lubigi-balaajana-lwa-nema-kubamenyera-mayumba-agasoba-mu-150-gasigadde-ku-ttaka/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=abe-lubigi-balaajana-lwa-nema-kubamenyera-mayumba-agasoba-mu-150-gasigadde-ku-ttaka

Leave A Reply

Your email address will not be published.