Trusted News Portal

Akavuyo mu Kusaala Iddi e Mukono-Abasiraamu Beekandazze

0

Okusaala Iddi e Mukono ku muzikiti omukulu ogwa Mukono Central Mosque kabuze kata kuyiike, Abasiraamu bwe bavudde mu mbeera ne beekandagga nga bawakanya abakulembeze okulemererwa okukulemberamu okusaala nga bakafudde kadaala ka byabufuzi.

Okusaala kuno okwabadde kutegekeddwa ku ssaawa ssatu ez’okumakya, zibadde zoolekera ssaawa nnya nga tekunnatandika ng’abakulembeze basimbizza layini bannabyabufuzi n’abagenyi abalala abalindiridde okwogera kino kye bagaanye ne bayimirira ne basaba basaale bagende.

Abasiraamu nga beekandazze bagenda oluvannyuma lw’okusaala ne batalinda na Khutubba.

Nga n’eky’okukola tebakirina, abakulembeze bapondoose ne bakkiriza okusaala ne kugenda mu maaso olwo kuno okuwedde, omuwendo ogusinga ogw’Abasiraamu ne gukwata emisaalo ne gwabulira omusikiti. Bakanze kubayita na kubategeeza nti bw’osaala Iddi n’otawuliriza Khutubba oba okoze kikyamu nga bafuuyira ndiga mulere.

Bino bigenze okubeerawo ng’akasana ppereketya kaaka nga kalinga nti enjuba baagiseeseetudde ne bagisembezaako ku nsi. Abasiraamu bagumiikirizza omubaka Nambooze n’ayogera gye bali ng’ono olumaze ne bayita Sheikh Sadam Ayub ayanjule olukangagga lw’abakulembeze n’abagenyi nga bwe baweebwa akazindaalo okubuuza ku Basiraamu.

Mu bamu ku be bakomezza ku njokye ng’efumbe tebalidde ye munna NRM, Dr. Daisy Ssonko ali kuwaga ng’ayagala kugenda mu palamenti ng’avuganya mu kifo kya Mukono Munisipaali ekirimu Betty Nambooze, eyali omubaka wa Mukono South mu palamenti, Johnson Muyanja Ssenyonga, eyali meeya wa munisipaali y’e Mukono, George Fred Kagimu, ssentebe wa Mukono Central division, Robert Peter Kabanda, n’abalala bangi.

Mu bagenyi ab’enjawulo ababaddewo era nga babadde balina okwogera, ye mwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo, Elijah Boogere Lubanga Mulembya ng’ono abadde wa kusomera Abasiraamu obubaka bwa Ssaabasajja obuyagaliza Abasiraamu Iddi ennungi, akulira akakiiko k’eby’okulonda mu disitulikiti y’e Mukono, Mark Muganzi Mayanja.

Ebifo omwabadde Abasiraamu nga basaala Iddi e Mukono nga bikaze.

Wabula mu ngeri y’owebbango bw’otamuwemukira teweebikka, bano beekandazze ne bagaana omuntu omulala yenna okwogera gye bali.

Wadde babadde basituka nga bagenda, oluvannyuma lw’okusaala, Sheikh Ayub asomye Khutubba ng’asinzidde muno n’avumirira ebikolwa eby’obwenzi ennaku zino ebikolebwa mu lujjudde nga n’abenzi babyenyumirizaamu era bakola amannya olw’obwenzi n’emikutu gy’amawulire ne gibatendereza olw’ekyo.

Abasiraamu nga bali mu kusaala Iddi Mukono.

Ayub anokoddeyo omugagga Emmwanule Lwasa gw’agambye nti teyeewuunya kuba ng’oluvannyuma lw’okwenyumiriza nga bw’ayenze ku bakazi nga n’abamu takyabajjukira, kati akaaba mbu ayavuwadde era eby’obugagga bwe bigenda n’agamba nti ekyo Allah ky’akola ku benzi ng’abasasuza kwavuwala.

Ng’ayogera mu kusooka, Nambooze yasabye Abasiraamu okusitukiramu okukyawa ebintu ebitagenda bulungi mu ggwanga, babivumirire n’okubyesammula. Ono yanokoddeyo eky’emisolo emingi gavumenti gy’etadde ku basuubuzi n’agamba nti bbo ng’ababaka abali ku ludda oluwabula gavumenti bavumiridde ekikolwa kino nga tebagaana bantu kuwa musolo naye gulina okuba nga gutegeerekeka.

Omubaka Nambooze ng’ayogera eri Abasiraamu mu kusaala Iddi e Mukono.

Wabula agambye nti eby’embi kwe kuba nti mu palamenti ebisinga gye bisalibwawo bbo batono mu nnamba nga tebalina kyamaanyi kye bayinza kuyisaamu wabula n’asaba nabo babeegatteko nga basinziira gye bali.

Ssekiboobo asomye obubaka bwa Kabaka nga naye awabudde gavumenti ku nsonga y’omusolo n’agamba nti omusolo gulina okuba ng’abantu abagusasula bagutegeera.

Abamu ku bakulembeze; okuva ku kkono; Hajji Haruna Sesmakula ssentebe w’Abasiraamu mu disitulikiti y’e Mukono, omubaka Muyanja, Ssekiboobo, Kabanda, n’eyali meeya Kagimu nga bali ku muzikiti e Mukono gye beetabidde mu kusaala Iddi.

Ye akulira eby’okulonda e Mukono, Muganzi asabye Abasiraamu okutwala obudde batunuulire enteekateeka ezirambika okulonda okunajja mu maaso ezaafulumiziddwa akakiiko k’eby’okulonda n’abasaba okuvaayo beenyigire mu nteekateeka z’okulonda n’okwesimbawo ng’ekiseera eky’okulonda kituuse.

Ssentebe w’Abasiraamu mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Haruna Ssemakula nga y’amyuka ssentebe w’ekibiina kya NRM mu disitulikiti y’emu eno naye yeetabye mu kusaala kuno ssaako RCC w’e Jinja, Hajji Juma Kigongo.

Mark Muganzi akulira akakiiko k’eby’okulonda e Mukono ng’ayogera.

Dr. Daisy Ssonko (ku kkono) n’omubaka Nambooze nga bali ku muzikiti e Mukono mu kusaala Iddi.

 

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.