Trusted News Portal

Basse Aba Bodaboda 2 ne Babba PikiPiki-Emirambo Bagisudde mu Bidiba

0

Ettemu ku bavuzi ba bodaboda e Mukono ssaako obubbi bwa pikipiki bisitudde buto enkundi nga mu lunaku lumu lwokka, bana be battiddwa mu bukambwe emirambo ne bagisuula mu bidiba.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, abavuzi ba bodaboda bana be battiddwa mu kiro ekyakeesezza olwaleero ne ku makya ga leero.

Onyango agamba nti babiri ku bano, babadde bavuzi ba bodaboda sso ng’ate ababiri bateeberebwa okubeera ababbi ba pikipiki ababadde bakolera mu kibinja ab’eky’okwerinda kye bakyanoonyerezaako.

Abatuuze e Kakoola mu Nama e Mukono nga bakungaanye okulaba nga bannyulula emirambo mu bidiba.

Ku ba bodaboda abattiddwa, Onyango agamba nti omu ye Richard Mawanda abadde atemera mu gy’obukulu 50 nga mutuuze ku kyalo Kakoola mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono ng’omulala ye Sunday Ssemanda ow’emyaka 30 nga mutuuze w’e Ssaamuuka mu ggombolola y’emu ey’e Nama.

Ate ababbi abattiddwa, Onyango agambye nti omu ategeerekeseeko lya Junior nga bano bamaze okubatta ne babakumako omuliro ne babookya ne babengeya nga poliisi esanze bisiriiza.

Teopista Nalwoga mwanyina wa Mawanda atutegeezezza nti abattiddwa babeera ku byalo bya muliraano ng’omu abeera Kakoola ate omulala Ssaamuuka mu ggombolola y’e Nama.

Nalwoga agamba nti babatuseeko ku makya ne babategeeza nga bwe waliwo abantu abattiddwa nga tebamanyi nti bantu baabwe ba mu nju wabula ng’olubadde okutuuka ku mulambo ng’alaba ye baaba we Mawanda ye yattiddwa.

Abatuuze beekokkodde obumenyi bw’amateeka ng’agamba nti ne wiiki ewedde waliwo abattibwa ku kyalo kye kimu ng’ate ne mu kifo ekyakeesezza ku Lwokuna era bazzeemu ne batta abalala babiri.

Eric Kasozi ssentebe w’omuluka gw’e Katoogo ogutwala ebyalo bino okuli n’eky’e Kakoola kwe battidde aba bodaboda bano agambye nti obumenyi bw’amateeka bususse mu muluka guno nga wiiki ewedde waliwo omwana eyasaddaakibwa, nga n’okuziika baaziise kiwuduwudu ng’omutwe teguliiko n’ebitundu by’ekyama nabyo abazigu baakuuliita nabyo.

Ogumu ku mirambo mu kidiba mwe baagusudde nga tebannagunnyululayo.

Ali Ssenyonjo, ssentebe w’abavuzi ba bodaboda mu ggombolola y’e Nama agambye nti abantu be bateebereza okubeera emabega w’obumenyi bavubuka b’e Walusubi era mu ggombolola y’emu eno. Ssenyonjo agamba nti waliwo omu ku babbi ba pikipiki e Walusubi gwe baakwata ne bamukwasa poliisi nga balowooza nti ono alina ekibinja kye yali akola nakyo ekirabika nga kikyabatigomya.

Emirambo egy’abattiddwa gyasuuliddwa mu bidiba nga poliisi yagitutte mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Omu ku be bateebereza okubeera ababbi ba bodaboda poliisi emututte

Oluvanyuma lwa poliisi okuva e Mukono okwegatta ku y’e Nama wamu n’ey’e Mbalala emirambo gino baagigyeyo  ssaako n’okutaasa omusajja abadde yeeyita owa CMI Kenneth Mugobesha aba bodaboda gwe babadde baagala okumiza omusu nga bagamba nti yakulira akabinja k’ababbi ba bodaboda e Mukono ng’ono mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi e Mukono.

ID y’omu ku be basse Mawanda Richard.

Amyuka RDC w’e Mukono Mike Ssegawa alaze okunyolwa n’asaba ba ssentebe b’ebyalo okuwa abatuuze eby’okwerinda ebimala era n’asaba batuule mu bwangu okutema empenda era n’alabula ababbi okuva mu bikolwa bino bunnambiro nga tebannagwa ku kyokya.

Ssegawa asabye aba bodaboda okusooka okwewa obukuumi nga beewala okutambula ekiro, ssaako n’okuwa poliisi amawulire agakwata ku be bateebereza okubeera abatemu olwo yo poliisi ekole okunoonyereza.

The post Basse Aba Bodaboda 2 ne Babba PikiPiki-Emirambo Bagisudde mu Bidiba appeared first on Kyaggwe TV.

Leave A Reply

Your email address will not be published.