Eyaliko Ssenkaggale wa FDC, Rtd. Col. Dr. Kiiza Besigye ng’ali wamu n’ekiwayi ky’ekibiina kino eky’e Katonga ali mu nteekateeka ya kutandika kibiina kya byabufuzi kipya oluvannyuma lw’abakulembeze abali e Najjanjankumbi okubasenza oluti ng’ekikere.
Besigye mu nteekateeka eno ali n’akola nga ssenkaggale wa FDC w’ekiwayi ky’e Katonga, Omuloodi Erias Lukwago, Amb. Wasswa Biriggwa n’abakulembeze abalala nga bano bagamba nti bagenda kutandika okutalaaga eggwanga nga beebuuza ku bantu oba kino kinaakola amakulu.
Bino baabituukiddeko mu lukungaana lw’amawulire lwe baatuuzizza e Kireka mu munisipaali y’e Kira ku Kireka Rehabilitation Centre.
Wabula mu kwogera kwe, Besigye yalangiridde olutalo olupya lw’agenda okukulemberamu n’ekigendererwa eky’okumaamulako gavumenti ya NRM mu bbanga ttono ddala.
“Njagala Bannayuganda banneegatteko tukozese emyezi gino egisigaddeyo okutuuka ku meefuga ga Uganda ag’emyaka 62 bukyanga eva mu mikono gy’Abazungu, tukolere wamu nga Bannayuganda tweddize obuyinza obwatutwalibwako gavumenti ya Mwami Museveni,” Besigye bwe yategeezezza.
Yasabye abo bonna abalwaniirira ekyukakyuka okutandika okuzimba ebibinja ku buli kyalo awatali kutya basobole okukozesa omukisa okumaamulako obukulembeze bwa President Museveni nga tebalinze kalulu ka 2026.
Dr Kiiza Besigye agamba nti ekibadde kikyabalemesezza okukwata obuyinza be bakulembeze abali ku ludda oluvuganya okulowooza nti obuyinza bayinza okubufuna okuva ku Pulezidenti Museveni mu mirembe.
Ono era asoomoozezza bakulembeze banne abataagala kwerumya wadde nga buli kye bakwatako basooka kusaba ssente n’agamba nti okuleka nga beggyemu omutima ogwo, bakimanye nti tebaggya kusobola kutuuka ku biruubirirwa byabwe.
Loodi Meeya wa Kampala, Ssalongo Hajji Erias Lukwago agamba nti mu kaseera kano Bannauganda baggwamu essuubi ery’okufuna obukulembeze obupya n’ategeeza nti ssinga Bannayuganda tebeerwanako, gavumenti ya NRM yandigenda mu maaso n’okukulembera eggwanga ppaka ppaka.
Omubaka wa wa munisipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti ku mulundi guno bagenda kufuba okulaba nga tebeetiiririra nga kati enkugaana zino bagenda kuzikuba mu bantu bw’atyo n’alabula ebitongole by’eby’okwerinda obuteetantala kubalemesa.
Ssentebe w’ekibiina kya FDC ekiwayi ky’e Katonga Amb Wasswa Biriggwa agamba nti bagenda kutalaaga eggwanga okumala ebanga lya myezi ena nga beebuuza ku Bannayuganda ku nteekateeka ey’okutondawo ekibiina ekipya.
Related
Let others know by sharing