Trusted News Portal

Kabaka Alabudde Abeegaana Bannaabwe Olw’omulugube Gw’eby’enfuna N’obugagga

0

Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi aweerezza abantu be mu Buganda n’ebweru waayo obubaka obubaagaliza Amazuukira ka Yesu Kristo.

Mu bubaka bwe, Kabaka akuutidde abantu be okwewala obunnanfuusi obubatuusa okwegaana bannaabwe olw’eby’enfuna n’obugagga n’agamba nti kino si kituufu.

Wabula Maaso Moogi alaze essanyu olw’amaanyi agateekeddwa mu kulwanyisa ekirwadde kya mukenenya nga mu kiseera kino, ezaali disitulikiti 10 ezisinga okubeeramu obulwadde bwa siriimu mu Buganda zaasigala ssatu zokka. Asabye Bannayuganda obutassa mukono.

Obubaka bwa Kabaka mu bujjuvu;

Twebaza Katonda atusobozesezza okutuuka ku mazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristo ag’omwaka 2024. Tukulisa bannaffe abeenyigidde mu kwegayirira nga basiiba. Tusaba Omukama abawe empeera mu kwegayirira kwammwe. Twongere okusabira abantu baffe abali mu bwetaavu naddala olw’embeera y’eby’enfuna eyeekanamye mu ggwanga.

Essomo eritujjukizibwa bulijjo nga tukuza Amazuukira ye, Petero okwegaana Yesu ne Yuda okulya olukwe mu Yesu! Bulijjo tufube okunywerera mu ebyo bye tukkiririzaamu tuleme okuwubisibwa n’okwegaana bantu bannaffe olw’ebyenfuna n’obugagga. Tusse ekitiibwa mu ndagaano ze tukola bulijjo nga teziri mu buwandiike wadde okubeera n’omujulizi, wabula okwesigangana ng’abantu. Ensonga eno nkulu nnyo eri abakulembeze baffe ne bannabyabufuzi naddala nga tujjukira omukwano n’obwetowaze obweyolekera mu kubonaabona n’okuzuukira kwa Yesu Kristo.

Essuubi mu lutalo lw’okulwanyisa ssiriimu

Waliwo okugenda mu maaso mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya era ebibalo biraga nti disitulikiti ezaali ekkumi (10) eza Buganda nga ze zaali zisinga okubeeramu abalina mukenenya kakati zaafuuka ssatu (3).

Kino kiragira ddala okugenda mu maaso mu ggwanga lyonna mu lutalo lw’okulwanyisa okusasaana kwa mukenenya. Tukubiriza abantu baffe mu ggwanga lyonna twongeremu amaanyi mu lutalo olw’okukendeeza okusasaana kwa Siriimu.

Nga tugoberera omulamwa gw’Emisinde gy’Amazaalibwa ogy’omwaka guno, tukubiriza abantu baffe okugula emijoozi n’okujja mu Lubiri okudduka nga April 7 olw’ekigendererwa eky’okukungaanya obuyambi obwetaagibwa mu bungi mu kulwanyisa mukeneya.

Amazuukira gatujjukize obwetowaze, okukolera emirembe n’okuyamba abali mu bwetaavu. Naffe tweweeyo okubikolerera bulijjo tusobole okubeera mu nsi yaffe mu mirembe n’essanyu.

Tubaagaliza Amazuukira ag’emirembe n’essanyu mu bulamu bwammwe bulijjo.

Ronald Muwenda Mutebi II

KABAKA

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.