Trusted News Portal

Katikkiro Alungamizza ku Muti Gw’ebyafaayo Ogwagudde Ku Kyambogo University 

0

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alungamizza ku muti gw’omuvule  ogugambibwa okuba ogw’ebyafaayo ogubadde ku yunivasite y’e Kyambogo nga guno kibuyaga yagusudde.

Katikkiro asabye Ssettendekero wa Kyambogo okusimba omuti omuggya gudde mu kifo ky’omuvule ogwagudde.

Okusaba kuno Katikkiro akuyisizza mu kiwandiiko ky’awandiise ekiraga ebyafaayo by’omuti guno n’amakulu g’ekifo we gwasimbibwa.

Mukuumaddamula agambye nti omuti guno mukulu nnyo, kubanga okutondebwawo kw’ensi, Uganda, kwatandikira ku bbaluwa ya Muteesa.

Agattako nti Abaminsane baagobererwa abafuzi b’amatwale, era “Endagaano y’Obukuumi” eya 1894, Abangereza gye baakola ne Kabaka Mwanga (mutabani wa Muteesa I) gwe musingi okwazimbirwa Uganda gye tulaba kati.

Annyonnyodde nti olw’ebbaluwa ya Muteesa I, abasomesa abaasooka okujja be baminsane aba Church Missionary Society (Alexander Mackay) Abapolotesitante mu 1877, ate ba White Fathers (Fr.Lourdel ne Bro. Amans) Abakatoliki mu 1879.

Ebbaluwa Kabaka Muteesa I yagiwandiikira wansi w’omuti guno ogwagudde ekyagufuula ogw’enkizo era ogw’ebyafaayo nga na bwe kityo tegwetaagisa kusasika naddala mu kifo nga yunivasite ewalina okukuumirwa n’okututumula ebyafaayo by’ensi.

Bw’atyo Ow’omumbuga asabye abaddukanya Ssettendekero wa Kyambogo basimbe omuti omuggya, ate n’ekifo kirambibwe, era ebyafaayo byakyo birambikibwe bulungi n’okukuumibwa bikuumibwe butiribiri.

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.