Trusted News Portal

Loodi Meeya Elias Lukwago Addusiddwa Mu Nairobi Hospital e Kenya Ng’ataawa

0

Embeera ya Loodi Meeya wa Kampala, Elias Lukwago tewoomya nnakabululu, yaddusiddwa mu ddwaliro lya Nairobi Hospital e Kenya ng’obulumi bumususseeko.

Abamuli ku lusegere bagamba nti okutuuka okusalawo okumutwala e Kenya yasoose kutwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo mu ggwanga okuli ery’e Lubaga gye yaweereddwa ku bujjanjabi naye ng’embeera tekyukako.

Kigambibwa nti era Omuloodi yagendako ne mu ddwaliro ly’e Nakasero ne bamwongerayo ku Kololo Hospital wabula ng’eyo yonna teri kituufu kyabadde kituukibwako olwo abasawo ne bakkaanya bamwongereyo mu bakugu mu Nairobi Hospital e Kenya oba oly’awo gy’anafunira ku buweerero.

Ng’ayita ku mukutu gwe ogwa mugattabantu ogwa X abasinga gwe bamanyi nga Twitter ku Mmande, Lukwago yagambye nti mu Nairobi Hospital amazeeyo ennaku wabula ng’abasawo bakola ekisoboka okulaba ng’atereera.

Lukwago yategeezezza nti alipoota y’abasawo eraga nti waliwo amagumba agagatta ku ggumba eddene ery’okumugongo agaaseseetuka nga gano ge gamuviirako obulumi obw’amaanyi buli lw’atambula oba okubeerako ky’akola.

Obulumi buno agamba nti butambula okugenda ku nsingo ne butuuka mu kibegabega ku ludda lw’omukono ogwa kkono.

Abasawo basazeewo alongoosebwe

Lipoota eriko omukono gwa Dr. Sophia Nguku yalaze nti ebitundu by’omubiri ebirala naddala ebyomunda bwe byakebeddwa byasangiddwa nga biramu bulungi okuleka ewali obuzibu ku Spine/cervical disc bulge. Abasawo baamuwabudde nti tayinza kufuna njawulo ya bulumi kusalako okuleka ng’alongooseddwa.

Ng’ayogerako n’olupapula lw’amawulire olwa Bukedde ku Mmande, Lukwago yategeezezza nti abasawo baamutegeezezza nti waliwo engeri ssatu gye bayinza okumulongosaamu;

Ensooka, basuubira okulongoosa okuva mu mugongo okwambuka ku nsingo, endala ng’ekizibu bakiva munda mu magumba g’omu mugongo ate eyookusatu okuva mu kibegabega n’ensingo.

Yategeezezza nti bakyetegereza engeri enaasinga okuba ennungi ate ennyangu etagenda kumunafuya nnyo mubiri ate nga emalawo obulwadde n’obulumi amangu ddala.

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.