Ttiimu ya Man U esimattuse ekibambulira ba muntu nsolo aba Coventry City bwe babuuze katono okubattamu omuntu. Man U yakulembedde omupiira guno ne ggoolo 3 aba Coventry ne babava emabega ne babayunga eddakiika 90 ne ziggwako nga balippaganye ku ggoolo 3 ku 3.
Bano bayolekedde mu ddakiika 30 ne guggwako nga teri kalungi buli ludda ke lufunyeeyo nga n’ekiddiridde kubadde kwetekerateekera ntegeke.
Mu ppenati, Carlos Henrique Casemiro ye yasoose okuyimirira mu kannya era n’agukuba e buswayida olwo aba Man U ne beevuma ensi.
Wabula gye biggweredde nga Man U esobodde okuwangula Coventry mu ppenati ggoolo 4 ku 2. Man U eggya kwambalagana ne Man City ku Webley Stadium nga May 25, 2024.
Related
Let others know by sharing
https://kyaggwetv.com/man-u-esimattuse-coventry-city-mu-fa-yaakuttunka-ne-man-city-mu-final/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=man-u-esimattuse-coventry-city-mu-fa-yaakuttunka-ne-man-city-mu-final