Trusted News Portal

NEMA Emenye Ekkanisa Eyazimbibwa mu Lutobazzi e Seeta-Abalokole Bawanda Muliro

0

Ekitongole kya National Environment Management Authority (NEMA) ekivunaayizibwa ku ntobazzi mu ggwanga nga kiri wamu ne poliisi y’obutonde bw’ensi bayungudde abasirikale abawanvu n’abampi okubawa obukuumi nga bamenya ekkanisa egambibwa okuba nga yazimbibwa mu lutobazzi.

Ekkanisa ya Blood of Jesus Ministries International yamenyeddwa n’esigala ku ttaka n’ebintu ebirala omuli kaabuyonjo, ennyumba zibadde zisulamu abaweereza mu kkanisa ssaako okukola nga sitoowa byonna ne byonoonebwa.

Ekkanisa esangibwa Seeta mu munisipaali y’e Mukono ku luguudo oluva e Kampala okugenda e Jinja mu maaso g’essomero lya Seeta High School Main Campus.

Abakulu abavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi baayungudde abavubuka ba kawuula okuva mu ggeto mu Kampala abakozesezza ensuluulu okusooka okutema n’okwonoona amabaati agaakozesebwa okuzimba ekkanisa eno ssaako ebimuli ebyasimbibwa mu luggya lwayo.

Oluvannyuma lwa kino, bano baleese aba masiini ne basala mpagi ku mpagi okutuusa ekkanisa lw’efukamidde n’etuuka ku ttaka olwo ne balyoka bannyuka.

Ng’omulimu gukyagenda mu maaso, waliwo omukyala gwe tutegedde nga mukyala musumba w’ekkanisa eno atuuse ne bamunnyonnyola ebigenze mu maaso naye n’atunula ng’alaba omulimu gwa Katonda ogwa wemmenta ensimbi nga guggwera ku ttaka.

Ono alabiddwako ng’atunula nga n’ekiddako takitegeera nga gye biggweredde ng’amaanyi gamuwedde n’atuula wansi ettama n’aliteekako enkondo.

Waliwo emu ku ndiga mu kkanisa eno etegeerekese nga Susan Nassurumbi atuuse n’ayambalira ababadde ku mulimu n’aboogerera amafukuule n’okubalaga obutali bumativu nti guno mulimu gwa Katonda gwe bataddeko omukono waakubasasula.

Nassurumbi agambye nti Katonda bw’aba wano we yasiima we waba wabeera ekkanisa, teri kiyinza kugiremesa ne bwe lunaaba olutobazzi kuba n’amakolero mangi agazimbiddwa mu ntobazzi nga teri ayunza kugakwatako.

Ye John Okecho, agambye nti yeewuunyizza okulaba ng’ekkanisa emenyebwa mu ngeri eno ng’ebifo ebimenya amateeka omuli ne bamalaaya gye beetundira tebikwatibwako.

Ku lukomo lw’essimu, omwogezi wa NEMA, Naomi Namara Karekaho ategeezezza nti abalokole bw’ekkanisa eno baazimba gye batalina kuzimba mu lutobazzi ekimenya amateeka.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/nema-emenye-ekkanisa-eyazimbibwa-mu-lutobazzi-e-seeta-abalokole-bawanda-muliro/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=nema-emenye-ekkanisa-eyazimbibwa-mu-lutobazzi-e-seeta-abalokole-bawanda-muliro

Leave A Reply

Your email address will not be published.