Trusted News Portal

Okugema Yellow Fever e Mukono Kwa Buwaze-RDC Ndisaba

0

Bya Wilberforce Kawere Mutito

Abatwala eby’okwerinda n’abakulembezze mu disitulikiti y’e Mukono basazeewo okukaka abantu bonna mu kitundu kino okugenda okugemebwa omusajja gw’enkaka (Yellow Fever) okw’ekikungo okutandiise olwa leero mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

RDC w’e Mukono, Hajjati Fatumah Ndisaba Nabitaka asinzidde mu kutongoza okugema Yellow Fever n’agamba nti wadde Bannayuganda bamanyi okulengezza ezimu ku pulogulaamu za gavumenti, okugema kuno kin o tebagenda kukikkiriza ng’abasawo abagenda okukola ogw’okugema bagenda kubateekako abasirikale ba poliisi okukaka abo abateeseteese okwesulubabba enteekateeka eno ate nga kirambikiddwa nti bagwa mu ttuluba ly’abantu abalina okugemebwa.

Ndisaba alabudde nti beetegese okugolola ettumba abo abanaakwatibwa nga balina engeri gye balemesaamu enteekateeka eno omuli n’okubakwata bavunaanibwe.

Okusinziira ku Dr. Stephen Mulindwa, akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Mukono, okugema kuno okutandise olwaleero nga April 2, kugenda kutambulira ddala okutuuka nga April 8, nga bagenda kugema abantu bonna abato n’abakulu abali wakati w’omwaka gumu n’emyaka 60.

Dr. Mulindwa ategeezezza nti baayungudde dda abasawo abagenda okukola ogw’okugema mu malwaliro gonna aga gavumenti n’ebifo ebimu eby’olukale ebitegekeddwa omuli amasomero ng’okutwalira awamu bateeseteese okugema abantu abasoba mu mitwalo 53.

Enteekateeka y’okugema etongozeddwa okutandika n’abakulembeze n’abakozi ba gavumenti mu disitulikiti eno nga RDC Ndisaba, Dr. Mulindwa, omumyukawe Dr. Isaac Ddumba, amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono Hajji Asuman Muwummuza, akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti Rashid Kikomeko, Ssekiboobo atwala essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Lubanja Mulembya n’abalala.

Dr. Mulindwa agasseeko nti okugema kuno kutandikidde mu masomero ne mu malwaliro ga gavumenti mu disitulikiti eno.

Vicar wa Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya, y’akulembeddemu Bannaddiini abavudde mu kkanisa mu bulabirizi bw’e Mukono ng’ono akukkulumidde gavumenti okuleka Bannaddiini ebbali mu nteekateeka zaayo ezigendereddwamu okulwanyisa obwavu mu bantu nga PDM, Emyooga, NAADs n’endala.

Omwami wa Kabaka akulembera e Ssaza Kyaggwe Ssekiboobo Elijah Boogere Lubanga Mulembya akunze Bannakyaggwe okugenda okugemebwa ekirwadde kino.

Ssekiboobo bano abakunze n’okweteekerateekera enteekateeka ya Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ey’okudduka emisinde gy’amazaalibwa emanyiddwa nga Kabaka Birthday Run nga gino gigenda kubeerawo ku Ssande nga April 7, 2024.

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.