Trusted News Portal

Poliisi Ekkirizza Aba NUP Okwegiriisa mu Bugenyi bwa Kyagulanyi e Mukono

0
Nambooze ng’ayogera eri ab’amawulire ku nsonga y’okukyaza Kyagulanyi e Mukono.

Kyaddaaki poliisi ya Uganda ewadde Bannakibiina kya NUP e Mukono ekyanya okugenda mu maaso n’okukyaza pulinsipo w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga Bobi Wine.

Na bwe kityo, bannakibiina e Mukono n’ebitundu ebirinanyeewo basuze bulindaala, ng’essaawa bazibalira ku ngalo batere bakube ku mwagalwa waabwe amaaso n’okuwulira ku bubaka bwe ku nsonga ez’enjawulo.

Embeera eno yazzeewo oluvannyuma lwa poliisi okuyimiriza era n’eremesa enteekateeka za Kyagulanyi okutalaaga n’okukunga obuwagizi bwa NUP mu disitulikiti y’e Kamuli ng’eno poliisi ng’eri n’amagye yalwanagana nabo nnyo omwali okubakubamu omukka ogubalagala sso nga ne bammemba ab’enjawulo baakwatibwa era baasindikiddwa ku limanda nga n’enteekateeka ezibeeyimirira zikyagudde butaka.

Okusinziira ku mukwanaganya w’emirimu gy’ekibiina kya NUP mu bitundu bya ‘Greater Mukono’ era omubaka w’ekibuga Mukono mu lukiiko lw’eggwanga olukulu, Bettty Nambooze Bakireke, Kyagulanyi obugenyi bw’e Mukono waakubutandikira Nakasajja ku luguudo oluva e Gayaza okudda e Nakifuma ng’okuva wano waakulusimba lwa kasota agende butereevu mu Kalagi okuggulawo woofiisi z’ekibiina eza Mukono North, okuggulawo woofiisi z’ekibiina mu kkonsituwensi y’e Nakifuma, okuggulawo kaweefube w’okubanja n’okununula Bannakibiina abaawambibwa n’okusibibwa obwemage, okuggulawo woofiisi z’ekibiina mu kkonsituwensi za Mukono South, okulambula ku bavubi n’emirimu egikolebwa ku mwalo e Katosi n’oluvanyuma afundikire n’olukungaana ggaggadde mu kisaawe e Njogezi ekisangibwa mu kibuga Mukono okumbi n’amaka g’omubaka w’ekibuga kino Betty Nambooze.

Woofiisi z’ekibiina e Mukono nga ziyooyootebwa.

Omubaka Nambooze abadde wamu n’abakulembeze b’ekibiina abalala naddala ab’okuntikko ku woofiisi z’ekibiina kino ezisangibwa e Kavule mu kibuga Mukono nga boogerako ne Bannamawulire ku nteekateeka nga bweziyimiridde ez’okukyaza omukulembezze waabwe Robert Kyagulanya Ssentemu ku Lwokusatu nga May 29, 2024.

Nambooze ategeezezza nti bamaze okukkaanya ne poliisi n’ebakkiriza okugenda mu maaso n’enteekateeka z’okukyaza Kyagulanyi e Mukono.

Ssaabakunzi w’ekibiina kino mu ggwanga, Fred Nyanzi asinzidde mu lukungaana lw’abamawulire luno n’akakasa bannakibiina mu bitundu eby’e Mukono nti omukulembeze waabwe wzakubakyalira olunaku olw’enkya era n’abakunga okuggwayo mu bungi bamwanirize.

Nyanzi era alabudde bannakibiina kino obutageza kwambala byambalo by’amaggye nga baanirizza omukulembeze waabwe kuba kimenya mateeka era poliisi yakibalabudde obutakikola.

Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango alabudde bannakibiina kino e Mukono nti ssinga banaava ku mulamwa ne batagoberera ebyo bye bakkaanyizzaako, enteekateeka z’okukyaza omukulembeze waabwe poliisi teggya kulonzalonza kuziyimiriza.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/poliisi-ekkirizza-aba-nup-okwegiriisa-mu-bugenyi-bwa-kyagulanyi-e-mukono/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=poliisi-ekkirizza-aba-nup-okwegiriisa-mu-bugenyi-bwa-kyagulanyi-e-mukono

Leave A Reply

Your email address will not be published.