Poliisi e Mukono ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okudda ku bba n’amufumita ebiso ebyamusse olwo omulambo gwe n’abeera nagwo mu nnyumba okumala ennaku ssatu.
Ruth Musimenta (30) y’atemeza emabega w’emitayimbwa nga n’ogumulangibwa kwe kutta James Nsubuga amanyiddwa ennyo nga Jamila gw’alinamu abaana babiri.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, abafumbo bano Musimenta n’omugenzi Nsubuga babadde batuuze ku kyalo Katikamu ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.
Nsubuga abadde ssentebe w’ekibiina ekigatta abavuzi ba ttakisi e Seeta mu munisipaali y’e Mukono.
Oyango ategeezezza nti Nsubuga yadda ewaka ku Lwokutaano nga May 17, 2024 ssaawa nga bbiri ez’ekiro ne balya eky’eggulo ne mukyalawe n’abaana baabwe babiri wabula nga bano baafuna obutakkaanya ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro ne balwana nga wano Musimenta we yasinzirizza Nsubuga amaanyi n’amufumita ekiso nga ku bulago ekyamuviiriddeko okufa.
“Omukyala ono Musimenta yakuumidde omulambo gwa Nsubuga mu nnyumba okuva kw’olwo okutuuka ku Ssande akawungeezi ssaawa nga emu n’ekitundu abatuuze bwe baabitegedde ne bategeeza poliisi,” bw’annyonnyodde.
Kitegeerekese nga Musimenta bw’aliko abavubuka babiri be yawadde ssente n’abalagira okusima ekinnya mwe yabadde ayagala okuziika Nsubuga ng’omu ku bano ye yatemezza kw’omu ku b’akakiiko k’ekyalo naye eyategeezezza poliisi eyasitukiddemu n’ekwata omukyala ono ng’ateekateeka kudduka.
Omulambo gwa Nsubuga poliisi yagututte mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Onyango agambye nti ye Musimenta akuumirwa ku poliisi e Mukono ng’oluvannyuma lw’okunoonyereza waakusimbibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe ogw’obutemu.
Wabula era Onyango ategeezezza nti mu kwaza ennyumba y’abafumbo bano, poliisi ezuddeyo engatto z’amagye, emmundu ekika kya pisito enkolerere ssaako akambe Musimenta ke yakozesezza okufumita bba n’amutta.
Nsubuga era abadde muwagizi wa kibiina kya NRM lukulwe ssaako eyali Minisita w’amazzi omubeezi, Ronald Kibuule era mu kiseera kye kimu eyali omubaka wa palamenti owa Mukono North mu palamenti.
Related
https://kyaggwetv.com/poliisi-ekutte-omukazi-eyafumita-bba-namutta-omulambo-nagusibira-mu-kisenge-kyabwe-okumala-ennaku/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=poliisi-ekutte-omukazi-eyafumita-bba-namutta-omulambo-nagusibira-mu-kisenge-kyabwe-okumala-ennaku