Trusted News Portal

Kitalo! Bp. Michael Ssenyimba Afudde!!!

0

Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono ssaako Ekkanisa ya Uganda okutwalira ewamu baguddemu encukwe oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omulabirizi w’e Mukono ow’okubiri, Bp. Prof. Micheal Ssenyimba.

Amawulire gano ag’ennaku Abakulisitaayo bagafunye okuva ku mulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akawungeezi ka leero.

Wadde ng’omulabirizi Ssenyimba abadde amaze akaseera ng’olumbe lumubala embiriizi, ekituufu ekivuddeko okufa kwe tekinnategeerekeka. Wabula waliwo abategeeza nti ono afudde bulwadde bwa kkansa. Obubaka obubise Bp. Ssenyimba blaze nti ebisingawo byakubategeezebwa oluvannyuma.

Bp. Ssenyimba ye yali omulabirizi ow’okubiri ow’obulabirizi bw’e Mukono nga yadda mu bigere bya Bp. Livingston Mpalanyi Nkoyoyo oluvannyuma lw’okusuumusibwa n’afuulibwa Ssaabalabirizi w’ekknanisa ya Uganda.

Bp. Ssenyimba yaddirirwa Bp. Elia Paul Luzinda Kizito ng’omulabirizi ow’okusatu ng’ate ono oluvannyuma lw’okuwummula yasikirwa Bp. James William Ssebaggala. Bp. Enos Kitto Kagodo ye yadda mu bigere bya Bp. Ssebaggala.

Bp. Ssenyimba yali musomesa mu yunivasite ya UCU ssaako okubeera cansala wa Ndejje University.

Kyaggwe TV yaakukutusaako ebisingawo ku kikangabwa kino.

 

nti omulabirizi

Bp. Kitto, stay Namirembe diocese, cancer,

The post Kitalo! Bp. Michael Ssenyimba Afudde!!! appeared first on Kyaggwe TV.

Leave A Reply

Your email address will not be published.