Trusted News Portal

Abawuliriza ba Radio Dunamis Badduukiridde Bamaama Abali Embuto ne Bannakawere

0

Abawuliriza ba Radio Dunamis FM esangibwa mu kibuga Mukono nga bayita mu kibiina mwe beegattira ekya Strong Signal badduukiridde abakazi abali embuto n’abo abamaze okuzaala ku ddwaliro lya Mukono General Hospital n’ebikozesebwa okusobola okubayamba  okuyita mu mbeera eno obulungi.

Bano nga bakulembeddwamu Ssaava Stephen Mutebi Junior akola pulogulaamu y’Ensi mu Kattu ku Dunamis Radio badduukiridde bamaama be basanze mu ddwaliro lya Mukono General Hospital mu kibuga Mukono.

Mu bimu ku bintu bye babawadde mubaddemu; Mama Kits ezibeeramu ebikozesebwa abakyala abazaala mu malwaliro ng’abo bannakawere abamaze okuzaala babawadde eby’okulya n’ebikozesebwa ebirala omuli ssukaali, Pampa, emigaati n’ebirala bingi.

Bano basoose mu lukungaana lw’abannamawulire olutudde ku Deirah Hotel e Mukono nga luno lwetabiddwamu bannamikago ababayambyeko okufuna ebintu bino byeb akwasizza abakyala mu ddwaliro.

Bannamikago kubaddeko abaana b’amasomero okuli Joy Primary School, Hon Drasi Isaac eyeesimbawo ku kifo ky’omubaka wa Mukono North mu palamenti n’awangulwa,  Hon Sarah Nakintu eyeesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mukono n’awangulwa ng’ono agamba nti agenda kuddamu okwesimbawo mu 2026 ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, ekkanisa ya Eagles Mountain Mukono, Lauben Family okuva mu Nassuuti Seventh Day Adventist Church, Footsteps Furniture, Omumbejja Winnifred Nakayenga n’abantu abalala bangi.

Ssaava Stephen Mutebi Junior owa Radio Dunamis (ku ddyo) ng’ayogera eri abakyala b’embuto mu Mukono General Hospital be baawadde Mama kit.

Mutebi agambye nti omulamwa omukulu mu nsonga eno kwe kulaba nti balwanyisa bwe bayise obulema mu basajja abakola ogw’okufunyisa abakyala n’abawala abato embuto ne batafaayo kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okubalabirira nga bali embuto n’ekiseera nga bamaze okuzaala ky’agambye nti kikyamu.

“Olugendo lw’okuzaala omwana lubeeramu abantu babiri omusajja n’omukyala, eky’ennaku, abasajja bangi omulimu gwabwe gukoma ku kufunyisa bakyala mbuto nga badduka. Wadde abasawo basomesa ne bategeeza nti abasajja kirungi okugenda mu malwaliro ne bakyala baabwe okuviira ddala nga bafunye embuto okutuusa lwe baba bagenze okuzaala, bangi bino bibayita ku mutwe nga mudalizo,” bwe yannyonnyodde.

Mu bamaama ab’embuto abaaweereddwa obuyambi, mwasangiddwamu n’abawala abakyali abato abatannetuuka nga nabo abasajja baabafunyisa embuto nga n’ekisinga obubi bangi ku basajja bano badduka ne baleka bu maama nga bubonaabona.

Hon. Drasi yagambye nti kyenyamiza abasajja okudduka obuvunanyizibwa bwabwe mu maka ne babulekera abakazi ekiviiriddeko amaka mangi okusasika.

Yasabye abasajja obutakoma ku kuzaala mu bakazi kyokka wabula batwale obudde n’okubawa ebyetaagisa n’okuweerera abaana kubanga abasajja gw’emutwe gw’amaka.

Hon. Nakintu naye yavumiridde abasajja abafunyisa abawala abatanneetuuka embuto n’ategeeza nti bano babaleetera obuzibu bwa maanyi omuli n’okubattira ebiseera byabwe eby’omu maaso kuba bangi olufuna embuto nga n’eby’okusoma babivaako.

“Bangi ku baana abafuna embuto nga tebanneetuuka bafa nga bali mbuto oba nga bazaala. Abamu baba bagezaako kuziggyamu ekivaamu nga bafa. Nkubira gavumenti omulanga okulwanyisa ennyo abasajja abefuula bassedduvu tto. Ate n’abamu ku bazadde abasalawo okuteesa n’abasajja abo ne babawa ssente ne babaleka ne batabasiba nabo bakimanye nti bakola musango era amateeka gabakwata,” bwe yategeezezza.

Omusawo Betty Nakazibwe akulira eby’okuzaalisa mu ddwaliro lya gavumenti erya Mukono General Hospital yagambye nti buli lunaku bazaalisa abakazi abasukka mu 30 era beenyumiriza mu kubeera nti bayambako mu lugendo lw’abamaama olw’okuleeta obulamu ku nsi.

Wabula yategeezezza nti ekisinga okubennyamiza be bakazi abagenda mu ddwaliro okuzaala nga tebalina byetaago bya ddwaliro nga ne ttulansipooti abatwala mu ddwaliro tebamulira ng’abamu batambuza bigere ne batuuka mu ddwaliro nga bakooye n’okusindika omwana tebakyasobola.

Yeebaziza abawuliriza ba Dunamis Radio ne bannamikago abaabayambyeko okulaba nti bafuna ebintu bye baawadde bannakazadde b’eggwanga.

Nakazibwe yakubiriza abakyala abatalina bikozesebwa obutagenda mu ba mulerwa kubanga eddwaliro teririna mukazi gwe ligoba nga n’abo abagendayo nga tebalina kye balina babayamba ne babazaalisa.

Yagasseeko nti bangi abagenda mu bamulerwa okuzaala bafunirayo obuzibu oluusi ne bafa nga bazaala era n’asaba abakazi abali embuto okugendanga mu malwaliro okunywa eddagala, okugoberera amateeka g’abasawo ate n’abo abazadde okugemesa abaana baabwe.

 

Let others know by sharing

Leave A Reply

Your email address will not be published.