Trusted News Portal

Kitalo! Munnabyanjigiriza Matovu Kyagambiddwa Afudde

0

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa olweggulo lwa Mmande bwe baafunye amawulire g’okufa kwa munnabyanjigiriza eyawummula Matovu Kyagambiddwa. 

Kyaggwe TV ekitegeddeko nti Kyagambiddwa we bamutuusirizza mu ddwaliro lya Mukono General Hospital abasawo bategeezezza abamututteyo nti abadde yassizza dda ogw’enkomerero.

Wabula abamututteyo tebakkaanyizza na bigambo bya basawo era bakkaanyizza ne bamwongerayo mu ddwaliro lya Mukono General Hospital erya gavumenti ng’eno mayo abasawo bakkaanyizza kimu nga nkuyege ne bategeeza nti ono abadde yafudde dda.

Kyagambiddwa abadde mutuuze ku kyalo Kitete mu Mukono Central Division mu munisipaali y’e Mukono. Ono waafiiridde ng’ebbanga si ddene ng’awummudde okubeera ku lukiiko olufuzi olw’essomero erya Bishop S.S e Mukono.

Ono yali kkamisona wa byanjigiriza mu ssaza ly’e Kyaggwe nga n’obuvunaanyizibwa buno nabwo Kabaka yasiima n’abuwummula.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/kitalo-munnabyanjigiriza-matovu-kyagambiddwa-afudde/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=kitalo-munnabyanjigiriza-matovu-kyagambiddwa-afudde

Leave A Reply

Your email address will not be published.