Trusted News Portal

Nambooze aduumidde, aba NUP bonna e Mukono basuze bulindaala okwaniriza Kyagulanyi

0

Bannakibiina kya NUP e Mukono nga bakulemberwa abakulembeze baabwe okuli omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, omubaka omukyala owa disitulikiti Hanifa Nabukeera ne Robert Peter Kabanda batuuzizza olukiiko lw’amawulire ne balaga obwetegefu bwabwe okwaniriza Principal wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu mu kutalaaga disitulikiti y’e Mukono okukunga obuwagizi n’okutongoza enteekateeka y’okuwandiika bannakibiina. Bano olukungaana balutuuzizza ku kitebe kya NUP e Mukono ku kyalo Kavule mu munisipaali y’e Mukono.

Kyagulanyi wakwetoloola disitulikiti y’e Mukono ku Lwokubiri nga May 28, 2024 ng’atandikira Nakasajja ku luguudo oluva e Gayaaza okuyita e Kalagi okugenda e Kayunga nga bw’anava wano wakutuukira mu Kalagi gy’aggya okuggulawo woofiisi.

Ng’ayogera, omubaka Nabukeera ategeezezza nti poliisi baagiwandiikidde mu budde nga bagitegeeza ku nteekateeka eno era tebagisuubira kubatataaganya mu nteekateeka zaabwe.

 @kyaggwetv1  Like, Share, Comment and Subscribe to Kyaggwe TV for daily updates.

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/nambooze-aduumidde-aba-nup-bonna-e-mukono-basuze-bulindaala-okwaniriza-kyagulanyi/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=nambooze-aduumidde-aba-nup-bonna-e-mukono-basuze-bulindaala-okwaniriza-kyagulanyi

Leave A Reply

Your email address will not be published.