Trusted News Portal

Omuwala Eyalimba Nkubakyeyo Olubuto Abbye Omulambo Gw’omwana N’agutwalira Bazadde B’omulenzi ne Baguziika!

0

BYA ABU BATUUSA

Aba ffamire ya nkubakyeyo basanze akaseera akazibu omuwala eyeeyise mukyala wa mutabani waabwe ali ku kyeyo e Dubai bw’abatwalidde omulambo ng’agamba nti mutabani waabwe yamuleka n’olubuto era n’abasaba baziike omulambo gw’omwana omuwere guno.

Wabula oluvannyuma kizuuse ng’ono yali asiba kiwaani kuliirako ssente za nkubakyeyo ng’amugamba nga bw’ali olubuto naye nga tali.

Kitegeerekese ng’omuwala ono, Sumayiya Nalubega bwe yalimba Oscar Kivumbi eyagenda e Dubai okukuba ekyeyo nti ali lubuto era ono abaddenga amuweereza obuyambi.

Bazadde ba Oscar okuli Jessica ne Joseph Kivumbi abatuuze ku kyalo Kinaawa mu Kyengera TC mu disitulikiti y’e Wakiso be bagudde ku mawano Nalubega bw’abatwalidde omulambo ne baguziika kyokka ne kizuuka oluvannyuma nti ono tabeerangako lubuto ng’omulambo gwe baziise tegubadde gwabwe, yagubbye bubbi ng’ayagala okuzibiikiriza ensimbi z’azze akuula mutabani waabwe.

Pookunoonyereza kwakizudde nga Nalubega alina yaaya Eva Namutamba gw’abadde abeera naye ng’ali lubuto ng’ono olwazadde mukamaawe n’amubbako omwana yagenze okumuzza ng’amubikira nga bw’abafudde.

Nnyazaala wa Nalubega (Maama wa Oscar) yatunnyonnyodde nti yamukubidde essimu n’amutegeeza nga bwe yazadde wabula eb’embi omwana n’afa.

“Nange ssaabadde mubi, nnamusabye aleete omulambo gw’omwana tuguziike. Ekyatuggye enviiri ku mutwe ye mukwano gwa Nalubega okututegeeza ng’omwana gwe twabadde tuziise bw’ataabadde waffe!” bwe yannyonnyodde.

Ono yagambye nti bwe baakitegedde, kwe kutegeeza ab’obuyinza okuyita mu mumyuka wa ssentebe w’ekyalo Kinaawa, Eric Lutakome n’ow’eby’okwerinda Ponsiano Kakooza nga bano be baasitukiddemu ne bakwata Nalubega ne bafuna ne yaaya n’alubaviira ku ntono.

Ye Kivumbi taata wa Oscar yasabye poliisi okubayamba eyingire mu nsonga zino olwo Nalubega awalirizibwe aziikule omulambo gwe agutwale ewaabwe waagwo.

Nalubega agambibwa okucanga abasajja n’atwala n’omulambo ne guziikibwa etali waabwe waagwo.

Yaaya Nantamba mu kwogerako naye yagambye nti omusajja eyamufunyisa olubuto yalwegaana nga naye ng’omuntu abadde talina gy’ayinza kutwala mulambo gwa mwana ono.

Ye Nalubega yagambye nti wakati mu mukwano ogwamubikka amaaso, yawalirizibwa okulimba omulenziwe nkubakyeyo Oscar nga bwe yali olubuto era mu kwagala okulaga nti yazadde omwana kwe kuddira omwana wa yaaya namugamba nga bw’azadde omwana nafa era wano we yasinzidde ne yeetondera bba amusonyiwe nti omukwano gwe gwamukozesezza kino.

Poliisi ye Kyengera yayitiddwa n’etwala Nalubega ne yaaya ku poliisi nga zzo enteekateeka z’okuziikula omulambo gw’omwana tezinnakolebwa.

Wano Mmeeya w’e Kyengera Sir. Mathias Walukagga olwawulidde bino yadduse za mbwa n’agenda ku poliisi era ono bwe twayogeddeko naye yavumiridde ebikolwa eby’ekifere ebisusse mu bakyala n’ekigendererwa eky’okwagala okuluulirako abasajja ssente.

Walukagga yasabye poliisi okulaba ng’omukyala ono Nalubega bamuvunaana omusango gw’okutta omuntu kuba tewali bukakafu bulaga nti omwana yabadde mulwadde n’aly’oka afa.

Walukagga yagambye bazikuule omulambo guweebwe nannyinigwo omutuufu era nti agenda kuyambako kuba ffamily okulaba ng’omwana aziikulwa.

Ssembatya ku kkono ng’ayogera ne mukaziwe abadde amucanga ne nkubakyeyo n’atuuka n’okumulimba olubuto.

Mutwalibu Ssembatya ng’ono ye musajja eyategeezezza nti Nalubega mukyalawe era nti n’okugenda e Kinaawa yavudde wuwe yagambye nti ono tabeerangako lubuto ng’era yeewuunyizza nnyo nti ate aliko omulambo gw’omwana gwe yatutte baziike ng’agamba nti ye yamuzadde.

“Kinzigye enviiri ku mutwe okulaba ng’ate Nalubega ddala kituufu mmusanze ku poliisi mu nsonga zino. Bwe babingambye mbadde mmanyi bannimba, kibi nnyo kuba nze mukyalawange mbadde simulangamu buyisa bwonna bwakubaliga,” Ssembatya bwe yategeezezza.

Ono eyabadde yogerera mu bukambwe yatunyonyodde byonna nga bwe yaakamala ne Nalubega emyaka 4 era ng’amulinamu omwana omu ng’w’okubiri yafa.

Ssembatya agambye nti abadde tamanyi nti alina omusajja gw’abadde akuula ssente nga amulimba nga bw’ali olubuto. Alangidde Nalubega nga bw’ali omufere era amwenenyezza nti tagenda kumuddira kuba n’obutemu mutemu. Nalubega ne yaaya mu kiseera kino bakuumibwa ku poliisi e Kyengera okunoonyereza ku musango gwabwe bwe kugenda mu maaso.

 

Let others know by sharing

https://kyaggwetv.com/omuwala-eyalimba-nkubakyeyo-olubuto-abbye-omulambo-gwomwana-nagutwalira-bazadde-bomulenzi-ne-baguziika/?utm_source=rss&utm_medium=rss&utm_campaign=omuwala-eyalimba-nkubakyeyo-olubuto-abbye-omulambo-gwomwana-nagutwalira-bazadde-bomulenzi-ne-baguziika

Leave A Reply

Your email address will not be published.